A Pass ayogedde ebikankana Ku mugenzi Kirumira Muhammad (RIP)

Trending Uganda

For more news visit Follow us on Twitter Like our Facebook page. #Kirumira azze akikkaatiriza nti amanyi nti essaawa yonna attibwa, era mu February yategeeza bannamawulire nti: “Sikyalina mbeera gye ntya; bwe kuba kufa ndi mwetegefu. Bwe nfa abantu bange nnabalaze entaana yange w’enaayitira wansi w’omuyembe mbeere awo ‘mpowe’ mu kasiikirize”. MUHAMMAD Kirumira yasoose kubuulira bantu be abamuli ku lusegere nti obudde bwe bulabika buweddeyo, essaawa yonna attibwa! Yabadde alaalikiddwa era mu be yategeezezza nti essaawa yonna asobola okutuusibwako obuzibu kwabaddeko nnyina Sarah Namuddu, kitaawe Abubaker Kawooya Mulaalo, nnamwandu Mariam Kirumira ne mikwano gye naddala abali mu byokwerinda. Maj. Galabuzi Musisi eyafuuka mukwano gwa Kirumira oluvannyuma lw’okukwatibwa ku by’okutta Kaweesi n’atulugunyizibwa wabula oluvannyuma n’ayimbulwa, y’omu ku baayogedde ne Kirumira nga tannattibwa. Kirumira yabadde awerekedde Galabuzi ng’agenda okwanjulwa e Kawuku ku lw’e Ntebe era yategeezezza nti baayogedde ku mbeera eriwo. Maj. Galabuzi yagambye nti Kirumira yamugambye nti: “Omulabe tumugonzezza anafuye, naye ekizibu talina feesi”. Nti yamugattiddeko na bino: “Ekizibu ekiriwo, omulabe buli lw’abeera mu mbeera eyo abeera wa bulabe kubanga abeera asambagala era asobola okukusamba! Galabuzi yagambye nti Kirumira abadde alina ekiwandiiko kye yabadde atwalidde Pulezidenti gye buvuddeko, wabula abakola mu maka ge (pulezidenti) ne bamulemesa okukimutuusaako. YALAGA ABANTU W’ANAAZIIKIBWA Mu mbeera ey’okulaalikibwa, Kirumira yagenda e Mpambire mu Mpigi n’alaga abantu ekifo we banaamuziika ng’afudde. Ekifo ekyo kiri wansi w’omuyembe. Azze akikkaatiriza nti amanyi nti essaawa yonna attibwa, era mu February yategeeza bannamawulire nti: “Sikyalina mbeera gye ntya; bwe kuba kufa ndi mwetegefu. Bwe nfa abantu bange nnabalaze entaana yange w’enaayitira wansi w’omuyembe mbeere awo ‘mpowe’ mu kasiikirize”. AMAZE EMYAKA ESATU NG’ALI MU KUTYA Mu 2015, Kirumira lwe yatandika okufuna obuzibu ne bakama be mu Poliisi, azze akyogera lunye nti obulamu bwe buli mu matigga era azze abuulira aba famire ne mikwano gye nti ekiseera kyonna bagenda kumutta. Bannamateeka be; Jude Mbabazli ne Medard Seggona baategeezezza abakungubazi e Mpambire nti omugenzi yabazza mu kyama gye buvuddeko n’abategeeza nti ekiseera kyonna yali waakuttibwa, n’abasaba nti ne bw’aba attiddwa, ensonga zaabadde alemerako bafubanga okuzitwala mu maaso. B’ANI ABAMUSSE? Kirumira atutte akaseera ng’aliko abanene mu poliisi baalumiriza okuwagira abamenyi b’amateeka era bwe yalekulira obwa DPC e Buyende, yategeeza bannamawulire mu Februay 2018 nti Poliisi yali evunze okuva waggulu, n’agamba nti engeri yokka ey’okugigogola ye Pulezidenti Museveni okugiyiwa okuviira ddala waggulu okutuuka wakatikkati. Kyokka Omuduumizi wa poliisi ebiseera ebyo, Gen. Kale Kayihura yayanukula nti Kirumira by’ayogera tebiriimu kanigguusa. Waayita omwezi gumu, Kayihura n’akyusibwa era n’akwatibwa nga June 13, 2018, okutuusa wiiki bbiri eziyise lwe yayimbuddwa mu kkomera ly’amagye e Makindye. Kayihura yagenda okugobwa nga bofiisi ba Poliisi abawerako era abaamannya bakwatiddwa nga ku basajja ba Kayihura abaakwatibwa kuliko; Nixon Agasirwe, Joel Aguma, Benon Atwebembeire, Sgt. Abel Tumukunde, Faisal Katende, Col. Atwooki Ndahura, Amon Kwarisima era abamu ku bano Kirumira yali azze abakolokota mu lwatu. Abakungubazi abeetabye mu mikolo egy’okusiibula Kirumira mu maka ge e Bulenga, ku muzikiti e Kampalamukadde, n’e Mpambire gye yaziikiddwa baalumiriza nti abasse Kirumira bantu ababadde banyigibwa olw’amazima gaabadde ayogera era abamu baatuuse n’okutegeeza Pulezidenti nti abasse Kirumira balina akakwate n’ekitongole kya Flying Squad. Bwe yali mu kkooti ya poliisi ng’awozesebwa emisango egyamuggulwako ng’ali e Buyende, Kirumira yalumiriza nti abantu b’azze ayanika be bamujweteseeko ebisangosango. Kino ky’aleese abakungubazi okwebuuza oba ddala abanene b’azze ayayogerako abamulwanyisa mu poliisi be bamulukidde olukwe okuttibwa ne wabulawo awondera. BALINA AKAKWATE KU BYA KAWEESI? Bwe batta Kaweesi omwaka oguwedde, Kirumira yatandikirawo okweraliikirira. Olumu yategeeza nti yali agenze ku kitebe kya poliisi e Naggulu nga Kaweesi yaakattibwa n’asisinkanayo ofiisa wa poliisi omu eyamukudaalira nti; “Ggwe obadde otusumbuwa nga bw’omala oddukira wa Kaweesi, kati tugenda kulaba gy’oddukira. ” Bino Kirumira yabitwala ng’okulaalika kubanga ofiisa nti yali akwatagana n’ekibinja kya Flying Squad ekyenyigira mu bumenyi bw’amateeka nga kikozesa emmundu. Kirumira azze akoonagana n’abaserikale mu bitongole bibiri: Flying Squad ne Special Operations Unit ekyali kikulirwa SSP Nixon Agasirwe eyaggalirwa amagye ku misango gy’okuwamba Abanyarwanda n’abazza e Rwanda mu bukyamu. #RIPKirumira, #MuhammadKirumira.

2018.09.10T12:47:33
4
1 662 Imetazamwa mara